Ssaabasajja

Back to the website                                     Register with us                               Invest With us

EBIGAMBO BYA SSAABASAJJA KABAKA

kabaka-mutebi-ii1.Yali Nakasero mu July 2011: Njagala mbategeeze nti mwegendereze abo aba-vaayo nga bagamba nti bo bebalumirwa Buganda okusinga bannaabwe, batume. Baagala bawe ekifaananyi nti bo bebal-wana okulaba nga banyweza empagi za Buganda so ng’ate bazze kuzinafuya na kuzitemawo.

2.April 2013 ng’aggulawo Muganzirwazza: Tulina okwenyumiriza ennyo mu mulimu guno kubanga gulaze ekikulu ekiri mu
kugobererra enkola n’enteekateeka (Planning) ebintu byaffe olumu tebibeeramu planning emala. Nze nsanyuse nnyo kubanga ekikulu ekiva mu planning kiri wano nkirabako.

3.July 2014 yabadde Mawogola: Nga tuli mu kaweefube w’okwegobako obwavu mu maka gaffe tubakubiriza okulaba nga buli kiseera tulima ebintu eby’ettunzi ng’emmwaanyi, ensuku z’ebitooke, kasooli n’ebirala. At’era ebyo byonna tubirabirire bulungi okutusobozesa okufuna amakungula ageegasa.

4.November 2013 yali Butambala: Twagala era okusaba gavumenti nti eddagala eriweweeza ku bulwadde bwa siriimu lyetaaga okuleetebwa mu malwaliro gaffe gonna naddala amalwaliro ag’omu byalo.

5.November 2014 ng’ali ne Nkobazambogo ku Lubiri e Mmengo: Abavubuka baffe mutwale eky’okusoma ng’ekintu ekikulu ekijja okubaggya mu butamanya n’okufuna emirimu.

6.July 2013 ng’akuza amatikkira aga 20: Mu kifo eky’okukozesa eryanyi tukkaanyenga bukkaanya mu Lungereza kyebayita Consensus. Twagala nnyo okuteesaganya okuleetawo okwesiima n’obutebenkevu mu ggwanga lyaffe Uganda naye ate twagala nnyo tuteese nga buli ludda luwa lunnaalwo ekitiibwa ekisaanidde.

7.January 2012 ng’aggulawo omwaka mu Lubiri: Abantu baffe,bakitegedde nti bbo bennyini balina okwenyigira mu mulimu ogw’okuzimba eggwanga eryamaanyi era erijja okuyamba abaana baffe mu biseera ebyomumaaso

8.Junuary 2014 e kangulumira ng’alambula Bugerere: Obwakaba bwetegefu nnyo okukolagana n’abantu abaamawanga gonna era nga bwetubadde tukola singa wanaabeerawo okukkaanya n’okussa ekitiibwa mu nsalo za Buganda n’obuwangwa bwaffe. Abaweereza ba gavumenti eya wakati ne Mmengo ffenna tuweereza omuntu omu n’olwekyo tuleme kwetemaatemamu.

9.August 2012 yali Sentema: Tetujja kukoowa kubanja bintu byaffe naye ku lw’obulungi, tujja kugenda mu maaso n’enteeseganya ez’emirembe nga tukulembeza amazima n’obwenkanya.

10.2011 bweyali aggulawo Olukiiko e Mmengo: Tulina okusigala nga tuli banywevu mwebyo byonna bye twagala nga bino: Okugabana obuyinza , aseka hehehee… Ndowooza ekyo kyenjogedde mukitegedde bulungi?

Akuume,

Michael.

 

Back to the website                                     Register with us                               Invest With us

Advertisements

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out /  Change )

Google+ photo

You are commenting using your Google+ account. Log Out /  Change )

Twitter picture

You are commenting using your Twitter account. Log Out /  Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out /  Change )

Connecting to %s