History of the mutima clan

Back to the website

Register with us

Invest With us

The Mutima (Heart) Clan

 

About the Mutima Clan

Secondary Totem: (Akabbiro) Mawuggwe (Lungs)
Head Of Clan:     (Ow’Akasolya) Namugera Kakeeto
Lubuga Wa Jjajja: Nakuya Yunia
Clan Seat:             (Obutaka) Bbaale, Buddu
Clan Motto:           (Omubala) Ekifa mu nnyanja, omuvubi y’abika.

 

 OMUKULU WAAKYO AYITIBWA NAMUGERA

 1. Q. Ddala Namugera yali Kabaka?
 2. Yee yali Kabaka. Namulondo ye yali Buddo. Katikkiro we yali ayitibwa Bemba. Katikkiro ono yali mukambwe nnyo. Yatta abantu okutuuka lwe beetamwa, ne beekubira enduulu. Baayita omu ku balangira, eyalina amaanyi, Omulangira yajja ennyago ne zikekera.
 3. Kabaka Namugera baamutemyako nti Omulangira azze bukula, eggye lyo Namugera yakwatamu byanguwa ng’akkirira Munyonyo. Ng’akwata erimu ku maato g’empungu ya Kabaka ne bagandabe abaasobola okugya mu lyaato (empingu ya- Kabaka). Abataagendera mu Mpingu, baakwata lya lukalu. Abaakwata ery’olukalu beeyawulamu ebibinja bibiri:
 4. Abatonotono baakwata ly’e Bulemeezi, abasinga baddukira Buddu ne ku lusozi oluyitibwa Lusiba mu Ggomba. Bano lwakwebuzaabuza ne beeyita Abasaggi abaava e Bunyoro. Ne batandika n’okwetuuma erinnya “LUSIBA” ne “NALUSIBA”. Eyo gye baava mpolampola ne basaasaana mu Buddu.

Okusenga E Bbaale

Namugera Kabaka omunaanule bwe yawulira nti bagandabe abaayita olukalu batuuse e Butale-Buwunga, n’alagira basigale awo kumpi ne Baganda baabwe abaali e Nakiyaga, Kasozi, Kafuluma ne Kyabbogo (Narozali).

Awo Abasaggi abaali boolekedde ery’e Bbaale beegatte ku mukulu waabwe Namugera. Yabategeeza (Namugera) ng e Bbaale bwe wali awafunda. Abasaggi baasigala e Butale ne libeera ESSIGA LYABWE nga lyamuliraano n’amasiga amalala.

WEETEGEREZE:

Amasiga gano okubeera amangi ate nga gamuliraano, kabonero akategeeza nti omulabe agezaako okulumba essiga erimu, aba akiguddeko.

EBYABAAWO NG’ENSI ETEREDDE:

Mu mulembe gwa Ssekabaka Daudi Chwa II, omusajja omusaggi ng’ava mu BASAGGI abaddukira e Bulemeezi, Ssekabaka Daudi Chwa II n’amugonnomolako obwaami obw’okukuuma “ENKULUZE” y’Obwakabaka bw’e Buganda. Omusajja oyo nga ye Waliggo.

Waligo ng’ali Mmengo ku bukulu bw’Eggwanika ly’Obuganda, yateeseganya ne mugandawe Omusaggi, Daudi Bakiika-Nakirembeka, bawambe obwa Namugera (obusika) e Bbaale-kuba abasika ba Namugera, bantu baavu era ssi bayigirize Daudi Bakiika Nakirembeka ng’afunye obuwagizi bwa Waligo, yabissaamu engatto, ne yessa mu lukiiko lwa Namugera e Bbaale. Yawaaba omusango. Yeeyanjula nga bw’ali Omulangira era nga mukulu w’oyo gwe babadde bayita Namugera (nga Ye Gatunulajjo)- “Obukulu obwo obwa Namugera e Bbaale, bwange (-Daudi Bakiika Nakirembeka).

Weesomere omusango gwa Daudi Bakiika Nakirembeeka-Empozesa yaagwo n’ensala mu lukiiko lw’e Mmengo olwa Ssekabaka Daudi Chwa II.

Read more  …>

 

Abakulu b’Amasiga n’emituba

Back to the website                                     Register with us                                Invest With us

2 Responses to History of the mutima clan

 1. lugemwa emmanuel says:

  nva munju ya #mubikula# Yosefu Lule e Ssekinga

  Like

 2. lugemwa emmanuel says:

  Mubikula yali akulira okukebela abagenyi abakyaliranga ssekabaka MWANGA 11

  Like

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out /  Change )

Twitter picture

You are commenting using your Twitter account. Log Out /  Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out /  Change )

Connecting to %s