Back to the website Register with us Invest With us
ENSALA Y’OMUSANGO GW’EKIKA KY’OMUTIMA DAUDI BAKIIKA
NAKIREMBEKA GW’AWAWAABIRA NAMUGERA KAAKETO
- GATUNULAJJO.
Tumaze okukebera n’okwekkaanya, ne tusala omusango negusinga omuwaabi
Daudi Bakiika Nakirembeka – kyeguva gumusinga:-
- Kubanga mu mwaka 1926 yawoza Bulangira. Era mu mwaka ogwo n’atabagana n’olukiiko kw’Ekika ky’O mutima n’amenya obulangira bwe yali awoza.
- Olukiiko lw’Ekika lwamulagira okuleeta ab’Amasiga ne Namugera Kakeeto okuleeta agage. Abadde tanagaleeta (amasiga) ate n’ajja awaaba mu Lukiiko lwa Kabaka nti nze Mukulu w’Ekika ky’Omutima ng’awawaabira Namugera Kakeeto Gatunulajjo.
- Olukiiko lwa Kabaka nerulagira okuzza omusango guno mu Lukiiko lw’Ekika.
- Obwa jjajja bw’Ekika bweyawawaabirira nti nze Jjajja w’Ekika. Olukiiko bwerumubuuzizza nga bwali jjajja w’Ekika ky’Omutima bumubuze.
- Bw’olaba mu masiga ge gonna naye erya Namugera gw’ayita omwana we talyogerako; ensikirano yalyo ng’amalala bw’agogerako ensikirano yaago, so nga Namugera mu mpoza ye amwoogerako nga bw’ali omwana we.
- Ate Namugera gw’abadde ayogerako mu mpoza ye nti mwana wange ate agamba nti ssi mwana wange ye wa Nyonyi wa Mbazira.
- Bw’olaba era mu kibuuuzo No. 23 agamba nti munnange alina Akasolya akake nange nina Akasolya akange, sikyalina Namugera Kakeeto Gatunulajjo kye mmuvunaana,
Kale nno mu nsonga ezo mwetusinzidde okusala omusango okumusinga Daudi Bakiika Nakirembeka, netumulagira okutabagana awamu ne Namugera Kakeeto Omukulu w’Ekika ky’Omutima; kubanga omuziro guli gumu.
Ne tumubuuza nti ojulira Olukiiko Olukulu olwa Ssabasajja Kabaka?
Okuddamu kwe nti njulira.
Ataddeko omukono gwe,
Daudi Bakiika, Nakirembeka.
Ffe abasaze omusango guno:-
- Petro Kasikisa Mutuba I, Buyaga, Omubaka w’Olukiiko Lwa Kabaka.
- Yoanna Aligaweesa Musaale we Kabula
- Zeverio Musajjawaza
- Yokana M. Katera
- Bulazi Ntangamalala
- Adulufu Balaba
- Batimayo Malekane
Omusango gwamusinga, n’akakasibwa mu Ssiga ery’e Butale-Buwunga.
Okusinziira ku musango ogwo, ogwali guleese akatabuko mu kika ky’Omutima, Ssekabaka Daudi Chwa, n’awa ab’Ekika ky’Omutima amagezi bave ku by’okulondanga Namugera mu mituba nga bwe babadde bakola, naye obwa Namugera bubeere bwa nsikirano, i.e.Omwana omulenzi amusikidde nga y’abeera Namugera Kasekende.
Okusinziira ku biriwo kati mu kika ky’Omutima i.e. Omukulu w’Ekika okulwaala ate mutabaniwe nga tayagala kusikira kitaawe mu bukulu obwa Namugera, olw’okuba nti waliwo abantu ababukaayanira. Obudde butuuse Ekika kidde ku nkola ya bajjajjaffe mu mituba omukaaga (6). Buli mutuba nga gussaawo omuntu omu omusengejje. Mu babaka abo omukaaga (6) eyasinzanga banne obululu nga y’atwala obwa Namugera Kasekende.
CHAPTER III
Emituba etaano (5) egiwanguddwa, nga sigiyomba, nga gisigala mu ddembe, nga girinda bulinzi ku lulonda oluliddako (Bajjajjaffe balina Democracy ow’ekika ekya waggulu). Ekika ky’Omutima bwe kinadda ku nkola eyasooka, Bajjajjaffe gye bassaawo olw’obulungi bw’Ekika n’eddembe, banaaba bakoze kikulu nnyo okumalawo omuvuyo n’enkayana zonna ezandizzeewo, ezaawulayawula mu baana ab’enda emu.
CHAPTER IV
KABAKA Namugera yafunira atya ab’Ekika ky’Omutima obutaka e Bbaale Buyaga mu Ggombolola y’e Kyannamukaaka?
Byajja bwe biti:
Nga bali mu nnyanja, baasalawo okuddukira mu bizinga by’e Ssese. Bwe bagoba e Ssese, ne balaba nga bali mu kabi kanene, singa omulabe waabwe anaabazingiriza ku bizinga, ajja ku batta abamalewo, ne bakyusa badde ku lukalu. Kwe kuvuga ne bagoba e Bbaale, awali empuku ennene nga basobola okulengera wonna mu bwengula bw’ennyanja. Ate waggulu w’empuku nga weetadde bulungi. Ku njuyi zombi omulabe gy’ayinza okufuluma nga balabayo bulungi. Kabaka Namugera omunaanule yabeera mu kifo ekyo okumala ekiseera kinene nga talaba amulumba- Omulangira bwe yamala okuwamba Namulondo ya Namugera eby’okuwondera Namugera n’abivaako.
CHAPTER V
Bbaale kyali kifo kifunda nga baganda ba Namugera, sibakyasobola kugyaawo. Namugera kwe kusaba baganda be bagende basenge mu bitundu ebitali wala nnyo ne Bbaale, ye asigale n’abaanabe e Bbaale.
Baganda ba Namugera baawulira bulungi mukulu waabwe ky’abalagidde okukola. Kati ge Masiga g’osanga:
- E Kyabbogo (Lujaaganya)
- E Kyamuyimbwa (Kaseegu)
- E Nakiyaga (Byuma)
- E Namwanzi (Lunamunyu)
- E Kasozi (Kanywanyi)
- E Bulonge (Lugaaju)
- E Nkuke (Namuna)
- E Kafuluma (Luswata)
- E Nabugabo-Bbaale (Wanaana)
- E Butale (Lukaaga)
- E Mabowa (Omukundi)
- E Minyinya (Ddungu)
- E Ssanje (Ndawula)
- E Bugonzi (Yombo)
- E Butale II (Nakirembeka)
Ate abaana ba Namugera abaasigala e Bbaale gy’Emituba gino: –
- Bwanika Bugayi Ku bbaale Ku butaka
- Mayiga Bulegeya Ku bbaale Ku butaka
- Kirangwa Buwesi Ku bbaale Ku butaka
- Mukasa Mbowa Ku bbaale Ku butaka
- Musoke Bwoga Ku bbaale Ku butaka
- Kakeeto Abbulibwa Misenyi Ku bbaale Ku butaka
CHAPTER VI
Namugera bwe baagoba e Bbaale ne bagandabe, baasangako omutaka ey’eddira Engeye, nga y’avubira Pokino eby’ennyanja (mbu ye Pookino n’abitwaliranga omu ku BAMBEJJA) Omuvubi wa Pookino baamuyisa bulungi; n’ayongera okukola ogw’okuvuba.
Kabaka Namugera ne baganda be baali sibayinza kukola mulimo gwa kikopi. Abawandiisi abamu ab’omulembe guno baabulwa abalungamya, kwe kuwandiika nga bagamba nti ab’Ekika ky’Omutima omulimo ku Kabaka w’e Buganda ggwali gwa kuvubira mumbejja eby’enyanja.
Kabaka Namugera omunaanule n’abalangira be bandyefeebezza batya okudda mu kuvubira awambye Namulondo yaabwe?
Omutaka eyavubiranga Pookino, ekibanja kye kya nsikirano n’okutuusa kati, ab’Engeye bakimanyi nga kyabwe era mwebali nnyo.
CHAPTER VII
ERYATO ERY’EMPINGU NAMUGERA MWE YAJJIRA OKUGOBA E BBAALE LYALAGAWA?
Tota mabi! Abavubuka abanyumirwa ebyafaayo by’ekifo kino beetegefu okufuna “Ba excavators” bajje bazuule eryato lino. Ennyanja bwe yajjula n’eribikka omusenyu.
Guno omulimo gwandibadde gukolebwa mangu awatali kulinda “Lease” kuyitamu.
Mu maaso g’ejjinja eddene kati eryabikkibwa omujjuzi gw’ennyanja Nalubaale, eryato eryo we lyagoba. Awandiika bino, nnaloba eky’ennyanja kye bayita “ENZERE”, nga nnyimiridde ku jjinja eryo. Lino ejjinja lye liyitibwa “BWANIKA” lye lyabbulwamu “Akasozi Bwanika, akali e Naggalabi, abalwanyi ba Kabaka Namugera bawangulirwa awo. Engalabi zasesebbuka nnyo. Ku linnya erya Bwanika ne kugenderako erya Naggalabi. Anti kwali kwekulisa kuwona Kabaka omukambwe (Namugera), eyalina Katikkiro eyatta abantu okukamala.
CHAPTER VIII
BIKI EBYABAAWO NG’OMUNGEREZA AMAZE OKUWAMBA UGANDA N’OBUGANDA BWONNA?
Endwadde eya mmongoota (Sleeping sickness) ereetebwa ebivu, yava e Ssese n’erumba olukalu, bajjajjaffe gye baali beekwese. Omungereza okuwonya obulamu bwabwe, n’alagira abantu bonna okwamuka ebitundu ebyo byonna ebyali birumbiddwa Mongoota nga ne Bbaale ekya Namugera okuzingiddemu. Omungereza yalagira abantu beeyongere munda mailo ssatu (3) okuva ku nnyanja. Jjajjaffe Namugera n’abaana be ne beewogoma mu baganda be abaali ewalako n’ennyanja, e Mitemula.
Baabeera eyo okutuusa Omungereza endwadde ya Mmongoota lwe yagimala amaanyi. N’abalagira okuddayo mu bibanja byabwe bye yali abagobyemu.
Abatono baatandika okuddayo okukandula ebyali ebibanja byabwe. Mw’abo abaddayo amangu mwe mwali taata wange, ADULFU BASAJJABALABA MAYIGA, Katikkiro wa Namugera, ow’ensibo akuuma obutaka bw’e Bbaale.
Namugera eyali atadde Entebe ye e Mitemula, awo w’ali kaakano yajja n’akandula ekibanja kye n’embuga ye. Ono nga ye Namugera Mawaggali. Obulamu bwe bwagonda, n’aggyibwa e Mitemula, n’aleetebwa e Bbaale. Era e Bbaale gye yafiira, n’aziikibwa awo mu mbuga ye ne mukyala we era awo we yaziikibwa, n’abaana be bonna baziikibwa awo. Mutabani we Gatunula (omusika we) bwe yafa omulambo gwe gwaleetebwa e Bbaale ne guziikibwa kumpi ne Kitaawe (Namugera). Omwana omu omulenzi eyali ayitibwa Sebastine ye yaziikibwa e Mitemula, mu kibanja kitaawe Namugera kye yali amuwadde, gye baayitanga mu Nzo”.
Back to the website Register with us Invest With us